Judges 1:12-15

12Awo Kalebu n’agamba nti, “Oyo alirumba Kiriasuseferi n’akiwamba ndimuwa muwala wange Akusa okumuwasa.” 13Osunieri, omwana wa Kenazi muto wa Kalebu n’akiwamba bw’atyo n’aweebwa Akusa okumuwasa.

14Awo Osunieri bwe yamala okuwasa Akusa n’amufukuutirira asabe kitaawe ennimiro; Akusa n’addayo eri kitaawe, bwe yali ava ku ndogoyi, Kalebe n’amubuuza nti, “Oyagala ki?” 15N’amuddamu nti, “Wampa ensi nkalu ey’obukiikaddyo naye kaakano nnyongera ekitundu ekirimu n’enzizi ez’amazzi.” Kalebu n’amuwa ekitundu ekirimu enzizi ekyengulu n’ekyemmanga.
Copyright information for LugEEEE